MULOKOZI AZAALIDDWA
MULOKOZI AZAALIDDWA (W.H.)
Ekidd: Ffenna tusanyuke;
Yezu waffe tumusinze:
Nga tumuyimbira.
- Mulokozi azaaliddwa Alleluia
Leero mpaawo atasanyuka. Alleluia Alleluia
.
- Omwana wa nnyini ggulu Alleluia
Ye wuuyo eyeefudde omuntu.. Alleluia Alleluia.
- Yesammula olubiri lwe Alleluia
N’asiima ekisibo ky’ente. Alleluia Alleluia.
- Yatwenkana mu mubiri Alleluia
Kyokka nga taliimu kibi. Alleluia Alleluia.
- Malayika ow’omu ggulu Alleluia
Mu nsi yaleetamu essanyu. Alleluia Alleluia.
- Basumba be baabuulirwa Alleluia
Ng’omwna oyo ye Mukama. Alleluia Alleluia.
- Ne wajjawo Bakabaka Alleluia
Nga bavudde e Buvanjuba. Alleluia Alleluia.
- Ekyabaleeta mmunyeenye Alleluia
Gye baalaba mu nsi yaabwe. Alleluia Alleluia.
- Yabakulembera ekkubo Alleluia
N’ebatuusa mu kisibo. Alleluia Alleluia.
- Omwana baamutonera Alleluia
Zabu, Bubaani ne Mirra. Alleluia Alleluia.
- Obudde butuuse ekiro Alleluia
Bonna nga beebase otulo. Alleluia Alleluia.
- Malayika n’alabika Alleluia
N’abuulira bakabaka. Alleluia Alleluia.
- Timudda Yeruzalemu Alleluia
Kubanga Erode mutemu. Alleluia Alleluia.
- Muwulire ky’ateesezza Alleluia
Omwana okumutemula. Alleluia Alleluia.
- Awo nno bwe munaddayo Alleluia
Ewuwe timuyitayo. . Alleluia Alleluia.
- Bwe baatuusa okutambula Alleluia
Ne bakwata ekkubo eddala. Alleluia Alleluia.
- Erode bw’atyo n’asubwa Alleluia
Omwana Yezu n’awona. Alleluia Alleluia.
- Yezu Kristu tumwebaze Alleluia
Emirembe n’emirembe. Alleluia Alleluia.
DOWNLOAD LINK:
0 Comments