OMUNUNUZI AZZE

OMUNUNUZI AZZE (Fr. Joseph Kyagambiddwa)

 

Ekidd:              Omununuzi azze, Omulokozi atuuse

Ffenna abantu tusanyuke, tujaguze nnyo!

Yee! Yee!  Omununuzi atuuse. Nga kya ssanyu leero.

Yezu azaaliddwa.

 

Tutti:

1.

(a)        Omutonzi lw’ozze ewaffe, tukwanirizza

Ffenna tukukkirizza Yezu

Ng’oli wa kisa Ggwe wenna Katonda mwana

Saasira, tube mu ddembe.

 

(b)        Emirembe gy’ekko egy’edda giweddewo

Lwa leero tusanyuke nnyo Yezu

Ng’oli mwagazi kuggwayo Katonda mwana

Saasira, tube mu ddembe.

 

2.

 

(a)        Okulinda kw’emyaka kwe tuluddemu

Kati kukomye; w’atuuse, Yezu

Ng’oli wa kitiibwa ggwe ow’obuyinza

Saasira, tube mu ddembe.

 

(b)        Mu ggulu ekitiibwa ggwe okivuddemu

Obeere wano osule ng’omwavu

Twebaze okutwewa wenna ow’obuyinza

Saasira, tube mu ddembe.

 

3.

 

(a)        Omulangira Yezu ggwe Nnyina amuzaala

Yogaayoga ddala nnyo Maama!

Twagala otutuuse ffenna ku w’obuyinza

Bikira tuweese ekitiibwa.

 

(b)        Ffe tuyimbira Taata oyo atuzaalira

Omutabani Omuganzi Yezu

Twatula awamu ne Mwoyo Katonda mwene

Saasira, tube mu ddembe.

DOWNLOAD LINK:

OMUNUNUZI PDF

 

 

 

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *