OMUNUNUZI KRISTU AZAALIDDWA
OMUNUNUZI KRISTU AZAALIDDWA (Fr. Expedito Magembe)
Omununuzi Kristu azaaliddwa azaaliddwa Kristu wuuno azze
Alleluia Alleluia Alleluia Kristu wuuno azze.
Kristu …. Azze … azze … azze … Kristu azaaliddwa … Kristu wuuno azze.
Y’anaatumulisa …….. y’anaatumulisa mu mutima amazima
Y’anaatumulisa …….. ne tusobola okulaba bw’afaanana
Y’anaatuwabula ……. y’anaatuwabula ye ye muwabuzi
Y’anaatuwabula ……. Y’anaatuwabula ababi ffe abaali bawabye.
Azaaliddwa mulindwa atuuse ye w’okutuwonya azze omununuzi.
Azaaliddwa omusuubize atuuse gwe batusuubiza azze omununuzi
Azaaliddwa mulindwa wuuno ye w’okutuwonya azze omununuzi
Azze omusuubize tumwanirizza azze omusuubize tumukkiriza
Kristu tumukkiriza, Kristu Omulokozi azze:
Alleluia, Alleluia, Alleluia azaaliddwa.
Omulokozi azaaliddwa.
Y’oyo azze okujuna ………… abamusaba okulab bonna
Y’oyo azze okujuna ………… atuuse anaatujuna
Y’oyo azze okujuna ………… abamusaba okuwona bonna
Y’oyo azze okujuna …………. Ye wuuyo nnantalemwa.
DOWNLOAD LINK:
0 Comments