OMWANA W’OMUTONZI

OMWANA W’OMUTONZI  (W.F.)

 

  1. Omwana w’Omutonzi, alese eggulu lye;

Mulabe Omulokozi, azaaliddwa ku nsi

Ffe abali mu nnaku, Yezu atusaasidde;

Azze okutuggya muy buddu, n’effugabbi lya sitani.

Amutuwangulidde, amutuwangulidde.

 

  1. Abantu, mutegeere Yezu bw’atwagala;

Ffenna ka tumweyanze Okutulokola

Ebyonziira eby’edda leero tibikyagasa;

Tufunye ekirala ekiggya, Yezu yekka atasingika;

Ye wuuyo atununula  (bis)

 

  1. Ekitwesiimya kun nsi leero, nze, nkigaya;

Anti ndaba Omutonzi bwe yeefudde omwana.

Ggwe wamma kya ssanyu! Abantu tuweereddwa!

Yezu bw’avudde mu ggulu, atuwonyezza obunaku.

Tumusseemu ekitiibwa.  (bis)

 

  1. Twala nno omwoyo gwange. Yezu ggwe Kabaka.

Ne mu bulamu bwange onfugire ddala.

Nkulagaanya kino: Okubeera omuddu wo.

N’okukwagalira ddala mu mazima nga sirirmba:

Ggwe Omulokozi wange. (bis)

 

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *