WALIWO ESSANYU
WALIWO ESSANYU (FR. Kizito Mayanja)
Waliwo essanyu eyo mu Ggulu mu Bamalayika
Kubanga omununuzi w’ensi eno azaaliddwa
Waliwo essanyu eyo mu Ggulu mu Bamalayika
Kubanga omununuzi w’ensi eno azaaliddwa leero.
Alleluia, alleluia, alleluia , kristu azaalidwa, Alleluia.
Alleluia, alleluia, alleluia , mujje mwe tumusinze.
Azaalidwa omulangira yezu;Azze
Okutuwonya sitaani n’enkwe ze zonna, n’enkwe ze zonna
Alleluia……..
Nti:ne yisaaya yakiranga mu bulanzi bwe, nti mu kibuga kya Daudi gy’Alizaalibwa eyo, gy’Alizaalibwa eyo
Alleluia…..
Tusanyuke, tujaguze…………………………….kristu azaalidwa
Olwa yezu omusuubize………………………..omununuzi azaalidwa
Bamalayika b’omukama…………………….. kristu azaalidwa
Baababuulira abalunzi b’amagana……….. omununuzi azaalidwa
Bakabaka b’ebuvanjuba………………………. kristu azaalidwa
Emmunyeenye baagigoberera………………… omununuzi azaalidwa
Emmunyeenye baagigoberera………………… kristu azaalidwa
N’ebatuusa ku mulokozi……………………….. omununuzi azaalidwa
Ebirabo baamutonera…………………………… kristu azaalidwa
Obubaani ne zawabu ne mirra……………….. omununuzi azaalidwa
Tumwebaze nnyiniggulu……………………….. kristu azaalidwa
Emirembe gyonna…………………………………. omununuzi azaalidwa
(repeat alleluia)
0 Comments