WULIRA BAMALAYIKA
WULIRA BAMALAYIKA (W.F.)
Ekidd: Gloria in excelsis Deo x2
- Wulira Bamalayika, Nga bwe bayimba ne’essanyu
Ne beetaba bonna awamu, Mu luyimba lw’ekitiibwa.
- Abasumba ne beekanga, Nga balabye Malayika.
Baamulaba ng’atangaala, atukula amasamasa.
- Malayika n’abagamba, Abange muleke okutya.
Ka mbabuulire ekigambo, Ekinaabasanyusa ennyo.
- Omulokozi w’abantu, Olwaleero azaalidwa.
Ye Katonda ow’omu ggulu, Atuuse okubanunula.
- Musituke nno timulwa, Ne mweyuna e Betelemu.
Azazikiddwa mu mmanvu, Eyo gye munaamusanga.
- Amangu ago ne bagenda, Ne batuuka mu kisibo.
Basanzeeyo akaana akato, Ne Yozefu ne Maria.
- Bonna awo bwe baamwekkaanya, Ne wataba atakkiriza.
Nga akaana ako ye Katonda, Baavunnama ne basinza.
- Naffe ffenna tukkirize, Yezu eyava muggulu.
Mulokozi mulazaanye, Tumuyimbire n’essanyu
DOWNLOAD LINK:
0 Comments