WUUNO LABA ATUUSE (Fr. James Kabuye)
Ekidd: Wuuno laba atuuse, Yezu azaaliddwa
Wuuno laba atuuse, leero atuzaaliddwa!
Noe! Noe! Noe! Yezu azaaliddwa (x2)
- Ensi yalindanga Omulokozi okujja
Twali tuwabye ffenna Omulokozi okujja
Ye wuuyo Omwana wa Katonda Omu gw’azaala
Yeefudde Omuntu atulokole.
Mujje tumusinze! Mujje tumusinze.
- Ensi yali eri etya omulokozi okujja
Yali mu kusinza nte, Omulokozi okujja
Ye wuuyo Omwana wa Katonda omu gw’azaala
Yefudde Omuntu atulokole.
Mujje tumusinze! Mujje tumusinze.
- Ensi yayuuguuma Omulokozi lw’ajja
Emmunyeenye y’oli azze Bamalayika abazibu
Be baabo Omwana wa Katonda omu b’aleese
Beesiimye abanntu abalunngamu!
Mujje tumusinze! Mujje tumusinze.
- Mu ssanyu eyr’ensuusso ka tumwebaze lw’azze
Tulina kimu kyokka okumwagala omuzira
Ye wuuyo Omwana wa Katonda Omu gw’azaala!
Yeefudde Omuntu atulokole!
Mujje tumusinze! Mujje tumusinze.
DOWNLOAD LINK: