YEZU KRISTU AZZE

YEZU KRISTU AZZE   (M.H)

 

Ekidd:              Yezu Kristu azze mu ffe!  Omukodere ye abunye ekyaama.

Yezu Kristu azze mu ffe!  Fuuwa engombe, tujaguze.

 

  1. Mmwe abasumba, mujaganye! Leero mwanirize Omukama

Mmwe abasumba, mujaganye! Akawere kabajjidde!

 

  1. Mmwe abalungi, musanyuke! Emirembe tigirizaama

Mmwe abalungi musanyuke! Eggulu libatuukiridde!

 

  1. Mmwe abasobya muwanjage! Ebibi ne mubyebalama!

Mmwe abasobya muwanjage! Omuwere abasonyiwe!

 

  1. Twetowalize eyeebase. Mu kabanvu nga tuvunnama!

Twetowalize eyebase, Tweyanze n’Omuzadde we!

DOWNLOAD LINK:

YEZU KRISTU AZZE PDF

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *