AKONKONA KU LUGGI

Akonkona ku luggi Yezu akuyita wuuyo
Akonkona ku luggi ggulawo omutima gwo ggwe
Akonkona ku luggi omutima ggwe muwe agutwale
Obulamu Yezu abufuule bwonna.
1.    Oli wuwe akunoonya jjukira nga wali omusenze
Bw’otyo n’omukyawa Yezu akomyewo ku luggi
Yezu ky’akugamba kinyweze bwe bulamu obuggya
Ensi eno tekupaaza Yezu n’omufiirwa yenna.
2.    Bangi abagiganza ensi eno bw’ebalimba bw’etyo
Bangi n’ebapaaza bw’etyo n’ebalimbalimba
Weesigenga Yezu Mukama owone okufa ggwe
Kwata bye yagamba bw’otyo obe mulamu wenna.
3.    Malirira okumwewa Yezu owone okusaaga
Kikakase okinyweze Yezu mutambulenga mwembi
Bingi by’olemedde sitaani kw’ayima akuswaze
Mweyambule omusuule wunno anaakuyamba waali.

4.    Bangi b’anunudde Yezu ng’abasenza bw’atyo
Nga nange mw’ombalidde ekisa kye ndikitenda wonna
Talemwa Omuyinza Yezu ggwe bw’oba omusenze
Malirira okumwewa wuuno anaakuyamba waali.
5.    Mutende Omuyinza Mukama atuyamba bw’atyo
Tumwesige atuyambe Mukama ye muyanbi waffe
Y’atuwanguza oyo bingi abiwugula oyo
Tusaanye tumusende, amiina emirembe gyonna.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *