BW’OMWEWA OMUKAMA

Bw’omwewa Omukama, ne weemaliza Omukama,
Talikujuza Omukama oyo, talikujuza emirembe.
1.    Abamugoberera ……Talikujuza emirembe
Talibajuza…………..Yabasuubiza okubaweera mu nsi muno ne gye bujja.

2.    Entalo zo alizirwana, obulamu bwo alibukuma, Talikujuzza emirenbe.
Aliba wuwo Omukama, aliba wuwo, naawe olibeera eyo eyo mu ggulu.

a)    Buli eyevaamu n’amugoberera alimuwa – Empeera
b)    Buli eyeresa eby’ensi eno alimuwa – Empeera
c)    Buli alireka n’abazadde alimuwa – Empeera
d)    Buli alireka n’emikwano alimuwa – Empeera
e)    Buli alireka n,abaana alimuwa – Empeera

Olifuna kikumi kunsi kuno ne gye bujja, oligabana…
Ku mpeera y’abalungi emirembe
Olifuna kikumi kunsi kuno ne gye bujja, oligabana…
Ku mpeera y’abanyikira obutoosa
Olifuna kikumi kunsi kuno ne gye bujja, oligabana…
Ku mpeera y’abalwana abazira

N’omusalaba olifuna —    Nobonaabona
Nobonaabona ku lulwe—    Olwa Kristu
N’ebizibu olifuna—        Ogumanga
Ne weewayo ku lulwe —    Eyakuganza
//Osaana onywere ggwe —    Ku Katonda
Omusalaba togutya —    Gwe gulokola//x2

Omukama Yezu alikuwa – Alikuwa empeera
ng’omusenze
Omukama Yezu alikuwa – Alikuwa empeera
ng’onywedde
Omukama Yezu alikuwa – Alikuwa empeera
bw’omwewa.

Kwata ekkubo ery’akanyigo,
Kwata ekkubo era effunda
Nywera ssebo ggwe toddirira.
Alikutwala obeere waggulu eri,
Waggulu awaladde ng’omuli ku gwa ddyo.
Ddunda alikuwa empeera………………Alikuwa
Ddunda alikuwa empeera………………Alikuwa
Alikuwa empeera.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *