JJANGU JJANGU ENNO

JJANGU JJANGU ENNO
Jangu Jangu Enno
Ggwe Yesu Omwagalwa Wange
Jjangu Jangu Enno
Jjangu Obwedda Nkulinda
1.    Ggwe luyimba lwange
Yeggwe sanyu lyange
Ggwe kwesiima kwange Yesu
Jjangu Obwedda Nkulinda
Ggwe kwesiima kwange
Ggwe musumba wange
Ggwe musawo wange Yesu
Jjangu Obwedda Nkulinda
Ggwe mere y’omwoyo
Ggwe mazzi ag’obulamu
Jjangu Obwedda Nkulinda

2.    Ggwe Katonda wange
Ggwe Kabaka wange
Ggwe kyonzira kyange Yesu
Jjangu Obwedda Nkulinda
Jinja lyekaliro
Ye ggwe lwazi lwange
Ye ggwe maanyi gange Yesu
Jangu Obwedda Nkulinda
Ggwe ndagaano yange
Ggwe musika wange
Ggwe kikompe kyange Yesu
Jangu Obwedda Nkulinda

3.    Ggwe kubo eddungamu
Ggwe mwoyo ggwange
Ggwe mazima ggoka Yesu
Jangu Obwedda Nkulinda
Yesu ggwe Kigambo
E- – kyobulamu
Yeggwe subi lyange Yesu
Jangu Obwedda Nkulinda
Yeggwe ddembe lyange
Ggwe bulamu bwange
Ggwe magezi gange Yesu
Jangu Obwedda Nkulinda

4.    Ggwe buggaga bwange
Ggwe mugabi wange
Byona ebyange biva uwo Yesu
Jangu Obwedda Nkulinda
Yesu ggwe Mukama
W’obulamu bwange
Musanyu n’enaku Yesu
Jangu Obwedda Nkulinda
Byonna byenjagala
Byonna byenetaaga
Ggwe kirombe kyange Yesu
Jangu Obwedda Nkulinda

5.    Ggwe kwagala kwange
Oliwange wenna
Nze nange ndi uwo Yesu
Jangu Obwedda Nkulinda
Mubudde obwekiro
Munzikiza oyomwoyo
Gwe tawaza yange Yesu
Jangu Obwedda Nkulinda
Ggwe mulwanyi wange
Muntalo ezo mwoyo
Ggwe ngabo etasingika Yesu
Jangu Obwedda Nkulinda

6.    Bw’obulawo nzigwerera
Bw’obulawo nnemererwa
Omulaabe ampangula Yesu
Jangu Obwedda Nkulinda
Yesu ggwe asooka
Yesu ggwe nkomerero
Yeggwe mpera yange Yesu
Jangu Obwedda Nkulinda
Twala ebyange byoona
Byenina bye byenina
Nzijuzamu okwagala Yesu
Jangu Obwedda Nkulinda

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password