KATONDA WANGE OMWAGALWA

1.    Katonda wange omwagalwa, ggwe ssanyu buli wantu.
Buli kye nnoonya okindaga ssetaagenga na kantu.
Onnyambanga ngwa mu kabi, kitange nakuweera ki?
Laba bwe ndaga obwavu.

2.    Bwe nfunye Yezu twegasse, olwo nfuuse muganzi.
Ensi n’ebyayo mbidduse, bisuula bangi enganzi.
Ekkubo lyokka eryandagwa, Yezu kwe ndinywerera, era sirimuvaako.

3.    Yezu ekkubo eddungamu, anyweza buli bbanga. Ekkula omubalagavu, bajjajja gwe baalanga.
Ankuuma ndi kuteera ki? K’omwoyo ngudduse awabi, enneema ze mba nyweza.
4.    Ayi Yezu omuzira kisa, nnaasiima ntya by’oleese. Nkungaanye bamalayika ne mmange olwo tuteese.
Tube wamu nga nkwebaza, nneesambe n’ebitagasa. Nkukwase omwoyo gwange

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *