KATONDA WANGE OMWAGALWA (W.F.)

Katonda wange omwagalwa:

Ggwe essanyu buli wantu;

Buli kye nnoonya okindaga,

Seetaaganga na kantu

Onnyamba nga ngwa mu kabi,

Kitange nnaakuweera ki?

Laba bwe ndaaga obwavu.

 

  1. Bwe nfunye Yezu, twegasse,

Olwo nfuuse muganzi

Ensi n’ebyayo mbidduse

Bisuula bangi ennganzi

Ekkubo lyokka eryandagwa,

Yezu, kwe ndinywerera.

Era sirimuvaako.

 

  1. Yezu ekkubo eddunngamu

Annyweza buli bbanga,

Ekkula, omubalagavu.

Bajjajja gwe baalanga,

Ankuuma ndikuteera ki?

Ka omwoyo ngudduse awabi

Enneema ze mba nnyweza.

 

  1. Ayi Yezu omuzirakisa,

Nnaasiima ntya by’oleese?

Nkunngaanye Bamalayika

Ne Mmange, olwo tuteese.

Tube wamu, nga nkwebaza,

Nneesambe n’ebitagasa;

Nkukwase omwoyo gwange.

 

 

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password