MAZIMA NNEEGOMBA NNYO(Fr. Expedito Magembe)

Ekidd.: Mazima nneegomba nnyo mmutuuke eyantonda
Eyo mu ggulu nange mmutuukeko, aa
Nja kunyiikirira nnyo okukola by’andagira,
Ka nfunvubire, lulikya ne ntuuka.

1. Nneegombera ddala mbeere ewa Katonda wange …..Nneegombera ddala Kiwamirembe Lugaba atwesiimya

2.Nneesungira ddala okutuuka mu ggulu ……Nneesungira ddala
Ewa Katonda wange oli eyantonda

3.Eri waggulu awaladde abalungi beesiima …… Beesiima
Oyo Kiwamirembe Lugaba tabajuza ……….

4.Abali mu ggulu baawaayo obulamu bwabwe…….. Abali mu ggulu
Nange nneewaddeyo ew’Omukama

5.Nange ng’onnyambye, Mukama nja kusobola ……. Mukama nja kusobola
Kiwamirembe Lugaba, tonsuula.

DOWNLOAD LINK:
MAZIMA NEEGOMBA NNYO

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password