MIREMBE OMUKAMA

1.    Mirembe Omukama ayi Yezu omwagalwa
Siyinza kwogera leero nkusinze ntya
Mujje mwe Bamalayika nammwe bannaggulu mmwena
Tusinzize wamu Nyini butukuvu.

2.    Ayi Yezu nkwebaza ku lw’okunkyalira
Leero nkweyanze ntya nga bwe kisaanira
Essanyu limbugaanye nnyo
Onyambye weebale wamma ggwe onsaasidde.

3.    Nkusanyuse na ki? Laba bwendi bwendi
Ebyange ze nsobi nsale magezi ki?
Maanyi neefule omuddu wo ka nngende busenze bwo
Bwentyo nkwewongere nga bwe bw’onnewadde.
4.    Nnyweza n’eneeena yo nkwate ebiragiro
Gumya Ekleziya wo okkume abaana bo
Aboononyi bakomyewo gy’oli mu tabernakulo
Tuwe emirembe gyo mu ssakramentu lyo.

5.    Ayi mmanu entukuvu, mugaati gw’eggulu,
Tuwe obunyiikivu n’ensa mu mirimu
Ggwe ntanda y’abatambula ggwe ndasi y’abazirika
Ggwe ddala ettukuvu tulinnyise eggulu.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *