MIREMBE OMUKAMA by M.H. Music: George J. Webb

 1. Mirembe omukama! Ayi Yezu omwagalwa
  Siyinza kwogera, leero nkusinze ntya?
  Mujje mmwe bamalayika, nammwe bannaggulu mwenna,
  Tusinzize wamu nnyini butukuvu.

 

 1. Ayi Yezu nkwebaza ku lwokunkyalira!
  Leero nkweyanze ntya, nga bwekisaanira.
  Essanyu limbugaanye nnyo, nga nekkaanya ebitone byo,
  onnyambye weebale, Wamma ggwe onsaasidde.

 

 

 1. Nkusanyuse na ki?
  Laba bwendi bwendi?
  Ebyange ze nsobi, nsale magezi ki?
  Mmanyi nneefuula omuddu wo,
  Kanywere mu busenze bwo,
  Bwentyo nkwewongere, nga ggwe bw’onnewabbe.

 

 1. Nnyweza n’enneema yo, nkwate ebiragiro,
  Gumya eklezia wo akuume abaana bo.
  Aboononyi bakomyewo, gy’oli mu
  Tabernakulo, tuwe emirembe gyo, mu ssakramentu lyo.

 

 1. Ayi manu entukuvu, mugaati gw’eggulu,

Tuwe obunyiikivu, n’ensa mu mirimu.

Ggwe ntanda y‘abatambula, ggwe ndasi z’abazirika,

Ggwe ddaala ettukuvu, tulinyise eggulu.

Loader Loading...
EAD Logo Taking too long?

Reload Reload document
| Open Open in new tab

Download [21.34 KB]

                                              

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *