MIREMBE OMUKAMA (M.H.)

1. Mirembe Omukama!
Ayi Yezu omwagalwa!
Siyinza kwogera;
Leero nkusinze ntya?
Mujje mwe Bamalayika,
Nammwe bannaggulu mwenna:
Tusinzize wamu
Nnyini butukuvu.

2. Ayi Yezu nkwebaza,
Ku lw’okunkyalira!
Leero nkweyanze ntya
Nga bwe kisaanira?
Essanyu limbugaanye nnyo
Nga nnekkaanya ebitone byo
Onnyambye weebale
Wamma Ggwe onsaasidde!

5. Ayi Mmanu entukuvu,
Mugaati gw’eggulu,
Tuwe obunyiikivu,
N’ensa mu mirimu;
Ggwe ntanda y’abatambula,
Ggwe ndasi z’abazirika,
Ggwe ddaala ettukuvu,
Tulinnyise eggulu!

DOWNLOAD LINK:
MIREMBE OMUKAMA AYI YEZU OMWAGALWA

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password