MMWE ABATALIDDE MULYA WA? By J.B. Mawanda & arrang. Lawrence Ssemanda
Mmwe abatalidde mulya wa nga Yezu agabudde ekijjulo
omulungi ky’ategese eri abo be yeebonanya.
- Luba lwa kayisanyo lw’atuyise gy’ali tujje agabule.
Olwo ne tulinnya olusozi mu lw’akasota ffe nga twesunga. - Tuba n’amaanyi ffe nga tumaze okumuguna ag’omwoyo;
mu Ukaristia ffe mwe tujja obulamu mwe yatweweera.
- Enjala e’ennyonta eby’obutuukirivu y’abiwonya oyo.
Olwo ne tubunya Evanjiri nga tuli kimu naye mu nsi yonna. - Tuba mu kusinza ffenga tumuwa ettendo nga atwewadde.
Omwo mu weema ye entukuvu mw’abeera katumugulumizenga
0 Comments