MUGGULEWO YEZU ATUUSE

Muggulewo muggulewo Yezu atuuse,
Ayingire, ayingire mu mitima egyammwe;
Nneesiimye leero nange okukyazanze Omulokozi
Nneesiimye leero nange okukyazanze Omulokozi
1.    Mulabe amagero Katonda Mwana
Mulabe amagero, okujja omwange;
Nze ani nze gw’onkyalidde,
Nze ani nze nange omwolo.

2.    O Kristu ggwe Katonda,
O Kristu ggwe Akaliga,
O Kristu ggwe Omukama,
Osiimye otya okujja omwange?

3.    Laba ekitiibwa kye nfunye nze,
Okukyaza omutonzi w’eggulu;
Ssonga nze sissanidde,
Leero nange nneesiimye.

4.    O Mukama ggwe Katonda,
Leero nange akukyazizza;
Nze nfuuse ennyumba yo kati,
Nsiimye nnyo okujja omwange.

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password