MUGGULEWO YEZU ATUUSE(Jjuuko K. Ben.)

Ekidd.: Muggulewo, muggulewo Yezu atuuse
Ayingire, ayingire mu mitima egyammwe,
Nneesiimye leero nange
Okukyaza nze Omulokozi. x2

1. Mulabe amagero Katonda Mwana, Mulabe amagero okujja omwange.
Nze ani nze gw’okyalidde, Nze ani nze nange omwolo?

2. Oh Kristu Ggwe Katonda, O Kristu ggwe Akaliga;
O Kristu Ggwe Omukama, Osiimye otya okujja omwange

3. Laba ekitiibwa kye nfunye nze, Okukyaza omutonzi w’eggulu;
Sso nga nze sisaanidde, Leero nange nneesiimye.

4. O Omukama Ggwe Katonda, Leero nange akukyazizza;
Nze nfuuse ennyumba yo kati, Nsiimye nnyo okujja omwange.

DOWNLOAD LINK:
MUGGULEWO YEZU ATUUSE

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password