MUJJE BAANA BANGE

1.    Mujje baana bange, mujje Bantu bange
Mujje nze mbaliise, nge era nze mbanywesa,
Anywa omusaayi gwange, alya ennyama yange,
Mu ye mwenzija nze n’omwange ye n’ajja.

2.    Ye nze ntanda yammwe, ey’olugendo lwammwe
Mundye nze mbatuuse, ewa tata gyenva,
Gy’ali abalindiridde(mwenna), musembere okugabana,
Ku mbaga abalinze, mu bulamu obw’emirembe.

3.    Ye nze kkubo erituusa, mu bulamu obw’emirembe
Ye nze bulamu bwammwe era amazima gammwe
Singa munzikiriza, singa mungoberera
Mwenna nze mbatuusa, mu balamu obw’emirembe.

4.    Ye nze muti ogutinta, nga mmwe matabi gange
Mmwe mwekwate ku nze muleme kufa kuvunda,
Ye mmwe matabi gange, mmwe munywerere ggulugulu
Nga mwekutte ku nze, nzekka bulamu bwammwe.

5.    Ye nze musumba wammwe, ow’okuliisa endiga,
Ezabula nzinoonya zidde eka mu kisibo
Zonna eziyongobedde, ezo nzijjanjaba
Mudde mu mukwano, ogwa taata wammwe.
6.    Mujje gyendi mwenna, mujje abatuuyana ennyo,
Mujje mmwe abakoowu, mujje mmwe abakaaba,
Mumpe emisango gyammwe, byonna ebizibu byammwe
Byonna nze mbigonze, kye kyandeeta mu nsi.

7.    Mujje abaagalwa ennyo, mmwenna abantu bange
Mmwe taata be yampa, abanzikiriza mmwe
Mujje mbawe emirembe, muleke ensi etabagasa
Mujje mweyune nze, mbalage taata wammwe.

8.    Ndiisa n’omugaati, nnywesa Yezu wange
Jangu nkyalirwe ggwe, obe mugenyi wange
Ompe okukwagala ennyo, nkyawe ekibi nnamuzisa
Ontwale ggwe Yezu, ewa taata gy’ova.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *