MUJJE BAANA BANGE Fr, Vincent Kateregga
- Mujje baana bange, mujje bantu bange Mujje nze mbaliise, ng’era nze mbanywesa Anywa omusaayi gwange, alya ennyama yange! mu ye mwenzija nze n’omwange ye n’ajja.
- Ye nze ntanada yammwe,ey’olugendo lwammwe Mujje nze mbatuuse, ewa Taata gye nva. Gy’ali abalindiridde (mwenna) musembere okugabana kubanga abalinze, mu bulamu obw’emirembe.
- Ye nze kkubo erituusa,mu bulamu obw’emirembe Ye nze bulamu bwammwe, era amazima gammwe, Ssinga munzikiriza, Ssinga mungoberera. Mwenna nze mbatuusa, mu bulamu obw’emirembe.
- Ye nze muti ogutinta, nga mmwe matabi gange. Mmwe mwekwaate ku nze, muleme okufa okuvunda, Ye mmwe amatabi gange, munyweere ggulu ggulu, Nga mwekutte ku nze. nzekka obulamu bwammwe.
- Ye nze musumba wammwe, ow’okuliisa endiga Ezaabula nzinoonya, zidde eka mu kisibo. Zoona eziyongobedde. ezo nzijjajaba. Mudde mu mukwano. ogwa Taata wammwe.
0 Comments