MUJJE MWENNA TUMUFUNE by Lawarence Ssemanda
Bass/Tenor: Mujjee agabudde ekijjulo; mujje mwenna, mujje tumufune mu Ostia n’evviini, omubiri n’omusayi mmeeza entukuzu. Mujje Yezu atuwembejje.
Sop/Alto: Yezu agabudde ekijjulo; mujje mwenna, mujje tumufune mu Ostia n’evviini gyetunywa, tusembere ku mmeeza entukuzu. Mujje Yezu atuwembejje.
- Yezu tuutuno ffe twetegese, enjala n’ennyonta bituli bubi.
Tuzze ku mbaga ggwe gy’otegese, ye Ukaristia etuggumizza ffenna.
Bass/ Tenor: Ggwe gy’otegese, etuggumizza ffenna
- Ayi Yezu jjangu otujune, tweyanzizza ogabudde nnyo.
Ukaristia ggwe gy’otuwadde, yenetutukuza ffe abaali bawabye ku ensi.
Bas/Tenor: Ggwe gy’otuwadde, ffe abaali bawabye ku ensi.
- Ggwe wagamba nti Alya ennyama yo N’anywa n’omusayi gwo aliba mulamu’
Ayi Mukama ffe tuzze kulya, tunywe, tubebalamu olubeerera ffenna.
0 Comments