MUJJE TUGENDE EW’OMUSUMBA

Mujje tugende ew’omusumba,
Musumba omulungi Yezu y’akuyita,
Tugende ew’omusumba omukama Yezu y’atuyise.

1.    Omukama atuyita okugenda ggwe wulira omukama agamba,
“Mujje mujje gyendi mmwe obuliga,
mbawummuze era mbayambeko,
mujje, mujje gyendi nze musumba abaagala.”
Mujje……nze musumba,
Mujje……nze musumba owammwe abaagala
Mujje…….nze musumba omulungi atabasudde.
2.    Mujje eno nze mulyango…..nze mulyango
Mujje eno nze mulyango….nze mulyango ogw’endiga mweziyita, nze mulyango.
Atayita mu nze nga munyazi…….nze mulyango
N’endiga zimugaana,,,,,,,,,,,,,
Nze mulyango ogw’obulamu……..
Nze mulyango ogw’obulokofu………
Mujje,……………….

3.    Mujje eno nze musumba, x2………..
Nze musumba atalundira mpeera…….
Mpaaayo n’obulaqmu okubeera zo…….
Ezange nzimanyi nazo zimmanyi……..
Nziyita ne zingoberera……….
Nze musumba omulungi……….
Mpaayo n’obulamu okubeera zo…..
Nga kitange bw’ammanyi bwe mbamanyi……..
N’okubaagala bwentyo………
Mujje,……..
Mujje……………

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *