MUKWAKO MULYE
Mukwako mulye guno gwe Mubiri gwange,
mutoole munywe
Guno gwe Musaayi gwange ogunaaweebwayo
okubeera mmwe
Mwessiimye nnyo abakkiriza nti Nze bulamu
obw’olubeerera.
1. Timweraliikiriranga munaalya ki,
oba munaanywa ki? Ekyokwambala tekibatiisa
Kuba obulamu bwe businga ekyokwambala
Mmukkirize nze nnyinibulamu
2. Timwereliikiriranga munaalya ki oba
munaanywaki? Byo ebinyonyi eby’omu bbanga
Tebisiga yadde okukungula kye binaalya
Mukkirize oyo abirabirira