MWE MUJJE ABALAMAGGA

1.    Mwe mujje abalamagga yiino entanda,
Yiino etuuse Omutanda gy’agabula.
Haa mujje ne mugabana kw’eno entanda,
Anti Kristu yennyininnyini agabula.
Ndiwo mbanyweze – Ggulu Ggulu Ggulu
Mulya nze ne munywa ne mbazza buggya
Anti obulamu bwonna bwonna buli mu nze. x2

2.    Ye ggwe gwo omugaati ogwava eyo mu ggulu,
Anti Kristu ye nnyininnyini ggwe tulya.
Haa leero nze sikyajula ndidde entanda,
Anti entukuvu byonna byonna ne mbifuna.

3.    Haa y’oyo Omusumba Yezu atuliisa
Mu ddundiro lye awaladde tweyanze.
Haa y’oyo antwala nennywa ku nsulo ze,
Nga nesiimye Omusumba tanvaako.

4.    Ggwe ndiisa omubiri gwo Yezu ggwe wawaayo,
Bw’otyo ondokole ng’olaga ekisa ekingi.
Ggwe nnywesa omusaayi, Yezu ogwakuvaamu,
Ku kalivaliyo odde buggya ne mu nze.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *