NKUGULUMIZA NZE NTENDA

A:
Nkugulumiza nze ntenda, ayi mukama wange atuuse,
Nkugulumiza nze nsinza, Yezu mukama wange akyadde.
Oli wakisa ggwe atwewa, ayi mukama wange ozze otya?
Nnaakugamba ki? Nnaayogera ki?
Mukama mulungi

Soprano         Bass
Mugabi nnyo……..    Yee (x2)
Mugabi nnyo……..    Otugabira n’omubiri gwo.

Mugabi nnyo……..      Yee (x2)
Mugabi nnyo ……..     Otunywesa n’omusaayi gwo

Mugabi nnyo……..    Yee (x2)
Mugabi nnyo……..    Otutukuza abakwesiga.

Mugabi nnyo…….    Yee (x2)
Mugabi nnyo……..    Otufuula na baganzi bo.

Mugabi nnyo……..    Yee (x2)

Mugabi  nnyo…. …    Otugabula ng’otwewa
Mugabi nnyo ,…….    Otugabula ffe abaavu

N’otuliisa, otuliisa otunywesa ffenna
Weebale kitaffe Ddunda ng’ogabudde, ng’ogabudde.

B:
Muzirakisa anzaala, gwenziringana ambedde….ow’obuyinza
Andiisa …..mukama wange
Andiisa naakuyimbako mukama wange,
Oli mwesigwa wansusso, abakwesiga obajuna
Abatalina ke balyako nabo obayamba
Balya ku mugaati gw’obawa ne bakutta nnyo, ne bakutta nnyo
Osumulula abasibe oyamba abeegose
Ne bamuzibe ne balaba n’abalamazi, n’abalamazi ggwe n’obatuusa
Oyamba bannamwandu…… n’enfuuzi n’oziyamba (n’enfuuzi n’oziyamba)
Ekkobo ly’ababi olitabula

Mukama wange……oyamba…..
Osaasira ggwe………oyamba……
Oyamba abaavu…….oyamba…….

Nneyanza Mukama Yezu ….oli wakisa
Nneyanza ebirungi enfaafa……
Nnewuunya ekisa kyo ekingi……
Nkowoola abatonda bangi…….
Nkowoola abali eyo gy’oli……
Nnewuunya okukyaza Yezu……
Sakaanya omuyinza atuuse…….
Nnewuunya ekisa kyo ekingi……..

Back To B, Then A, Then D

C:
Oli wakisa kyanjawulo mukama wange oli wakisa….beesiimye abakunoonya.
Oli wakisa kyanjawulo mukama wange ensi eno kyeraga….beesiimye abakunoonya, abakunoonya, abakutanda, abakunonya Ddunda obawanguza, obawanguza.

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password