NZE ANI AKOWOOLWA

1.    Katwambuke abayite b’omukama entanda etuuse,
Tusagambize b’ayise kati, mmwenna abeetegese.
Nze ani akowoolwa, nze  ani akyaliddwa
Nze ani asembezebwa leero ku mbaga y’omukama.

2.    Ekitiibwa kye nfunye kati, ate kirina ani?
Okukyaza omutonzi w’eggulu, era ndi mu ggulu.

3.    Alinzigya ku ggwe mukama, leero kiriba ki?
Oba kufa ndikufiirira, ngende gy’obeera.

4.    Alinjagala nga bw’onjagala, leero asangwa wa?
Ggwe wawaayo n’obulamu bwo lwakunjagala nnyo.

5.    Ayi Maria mange omwagalwa leero ngambe ntya?
Nze okukyaza omwanawo ddala gwe wazaala n’oyonsa.

6.    Nze kyensaba ayi mukama, ggwe azze olwaleero,
Nga obw’okufa bugobye buti ntwala gy’obeera.

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password