Chorus:
Nze mugaati gw’obulamu (mundyeeko). Nze mugaati gw’obulamu, alya enyama yange, n’anywa n’omusaayi, ye alibamulamu (Ky’ekyo).
Nze mugaati gw’obulamu (mundyeeko). Nze mugaati gw’obulamu, abeetegese mujje tulye entanda, ffe nno tubebalamu.
Verses:
- Jangu eno ggwe gy’akuyise n’omutima ng’ogutukuzza; ogabanenga kukijjulo, mweyune ggwe akulokolenga.
- Jangu eno ggwe n’osembera ku altari ey’abaanabe; omubunye ne mubalala, Ye Kitaffe agabula bonna.
- Jangu n’olya by’ategese n’omutima ogwenenyezza; omubunye ne mu bwengula, ggwe musenge ye Kabaka waffe.
- Ajja gyendi aliba mulamu, n’enjala ye eriwonerawo. Oyo anzikiriza mu byonna, eyo ennyonta ng’agiwonye yonna.
- Alya n’anywa buliba bubwe obulamu obw’oluberera, ajaganyenga bulijjo, eyo ennyonta ng’agiwonye yonna.
Unison:
- Sajja kukola kye njagala wabula eky’oyo eyantuma; sirina kubuuza be yankwasa naye mbazuukize ku lw’oluvanyuma