OMUGAATI GW’OBULAMU

Omugaati gw’obulamu ogwava mu ggulu
(Guugwo wuuno, ye Yezu) x2
Ogw’abatambuze ye nnyini bulamu Yezu afuuse entanda.
1.    Tweyanzizza Ssebo omulungi,
Yezu okutweta (oyambye)
Tweyanzizza (oyambye) tweyanzizza
Ssebo okukwewa ggwe.
2.    Twesiime nnyo Ssebo ggwe owaffe,
Ssebo okutweta, (ng’ojja eno)
Twesiime nnyo (ewaffe) twesiime nnyo
Ssebo okuba naawe.

3.    Mmwe abayala namwe abayonta
Namwe abagonvu (mujje eno)
Ewa nnyini bulamu (ye Yezu) abakkukuse nnyo
Nnyini abawe amaanyi.
4.    Tukwesiga nnyo, Ssebo tutwale,
Ssebo otutuuse (eka eyo)
Gyobeera mu kitiibwa tukwesiga nnyo
Ssebo tutuuse eyo.
5.    Ewa Kitaawo, Ssebo tutwale,
Ssebo otutuuse (twesiime)
N’abamutenda (mukitiibwa) bannaggulu,
Naffe nno tube mu abo.

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password