SSAKRAMENTU ETTUKUVU

1.    Ssakramentu etukuvu, Yezu lye yekwesemu
Tulisinze n’okutya wamu n’okulyagala.

2.    Eby’edda byo byaggwaawo, kino kye kitambiro
Yezu kye yaleetera bonna abamukkiriza.

3.    Bwali budde bwa kiro, kumpi ne kalvariyo.
Yezu lwe yasiibula abatume abagaalwa.

4.    Omugaati gw’addidde gw’afuula omubiri ggwe
Omukama gw’abawa “Mulye ku kino mwena”.

5.    N’ekikompe bw’ekityo, bonna baakikombako,
Ne banywa omusaayi ggwe nga bwe balya enyama ye.
6.    Ebyo nga bikoleddwa awo n’abakutira
“Kino mukikolenga mwenna okunzijukira”

7.    Ye mu konsekrasio, Yezu mwe yeewelayo
Era ne mu komunio tumufuna bulijjo.

8.    Mujje gyendi mwe mwenna, mujje mwe abategana
Mujje nabagumyanga ne mbatowolokosa.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *