TUGENDE TUMUFUNE

Tugende tumufune, Tulina essanyu ffena okugabana
Tugende tumufune, ku Ukarastia eno ey’obulamu
Tugenda ku mbaga ebyambaro tubilina
Tugenda ku mbaga n’ebyambaro byaffe eby’obugole.

1.    Tugende tumufune omukama nnyini bulamu
Mu Ukarastia Kristu mw’abeera.
Tugenda ku mbaga Omukama gy’atuyise
N’abajulizi era gye bagabanako.

2.    Abankuseere n’abaavu bayitidwa
Ku Ukarastia embaga yaffe ey’obulamu.
Bamuzibe abo n’abalema olwa leero
Bajje balye ku kijulo eky’obulamu

3.    Ukarastia ngabo yaffe ey’obulamu
Erituwanguza olutalo ffe abalamazi
N’abajulizi gye baafuna mu kulwana
N’ebawanguza obulamu obw’olubeerera.
4.    Mukama waffe nga essaawa emuweddeko
Yatuula wamu ku meeza n’Abatume be
N’abagabula embaga ye eyasembayo
Ye Ukarastia eno gye twettanira.

5.    Abajulizi abattibwa e Namugongo
Tubalabireko baganda baffe abazira
Ukarastia gye beesiga mu kulwana
Yabattikiza engule ey’olubeerera.

6.    Timutyanga abo abazigu bali – abayigganya
Timutya abo abazigu bali – ababawalana
Oluusi bajja ne balowoza – ni babamalawo
Sso muli bangi olw’amaanyi – Katonda g’abawa
Nze nnabasuubiza ndibawa era – bye muliddamu
Bwe baba babatutte mu kkomera eyo – tuliba wamu x2

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password