TUJAGUZE

1.    Tujaguze tukube olube, tuyimbe ffenna n’essanyu:
Yezu azze wano ewaffe! Tumutenda ffenna wamu

2.    Ebigambo bya Konsekrasio, bimuleese mo Ostia;
Eyafiira ku Kalvario, ali wano ne mu Missa.

3.    Yezu wange, Tarbenakulo, yensiisira yo mw’obeera:
Emisana era n’ekiro ng’omaze okwetambira.

4.    Mukama wange nga nkwegomba! Vva mu Tarbenakulo yo:
Nje nkufune mu bwa Komunyo ng’onjijira mu kifuba.

5.    Yezu wange Ostansorio, Ye ntebe kw’olabikira:
Weyoleka ne mu bimyanso. Ffe nga tuzze okukiika.

6.    Ayi Mukama ggwe oli Kitaffe, ggwe mulokozi w’abantu,
Ggwe oli ssanyu ly’emyoyo gyaffe. Ng’ogyidde mu Sacramentu.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *