TUKWEBAZA NNYO YEZU

Tukwebaza nnyo Yezu, Ggwe atwewadde
Mu kwagala okungi ennyo, n’otwewa wenna,
Komunio ey’ekitiibwa etuwereddwa,
Lino ly’esakramentu , Ukaristia eno. (wenna)
1.    Nga tukufunye Yezu mu Ukaristia (wenna)
Tubeera n’amaanyi ffe ag’okwekuuma.

2.    Tweyanze Yezu otuliisizza ffenna(ah!)
Nga tukufuna Yezu mu ostia wenna.

3.    Tukusinza Yezu mu Tabernakulo(ah!)
Ne bulijjo Kristu ggwe mwe wekweka omwo.

4.    Tumweyunenga Yezu anti tukimanyi ffenna(ah!)
Omubiri gwa Yezu gwa muwendo nnyo
5.    Obuvumu bungi mu mwoyo mutuukirivu(ah!)
Mwetugajja amaanyi ne tuba bagumu bulijjo.

6.    Olw’ekisa kyo ekingi watwagala nnyo ffenna(ah!)
Nabuli ajja gy’oi akufuna mu ye.

7.    Mukama Yezu kye tukusaba bulijjo(kyekyo)
Ffenna tubenga naawe emirembe gyonna.

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password