WANJAGALA NNYO

Wanjagala nnyo Mukama wange, wambita Lugaba.
Nze atalina bwendi mumaaso go n’okkiriza mbe omwana.
1.    Nze ani gwe walonda, nze ani gwe waganza, nze ani gwe wabiita, nze omwonoonyi bwenti. (Lugaba)

2.    Yezu ekisa kyo, kingi nze nkitenda,
Anti ggwe wasiima okunfuula omwana.(Lugaba)

3.    Byenkola nze taata, bingi bye bikyamu,
Mu maasogo nze ne nswala ate ggwe n’onganza.(Lugaba)

4.    4. Bwentyo nga nkunyomye, bwentyo nga nkugaanye, tewandeka kuwaba kubula wajja era onnoonye. (Lugaba)

5.    Kwagala kwo Yezu, gyendi nze kusuffu, wasaasira nze n’ombita n’ofa okubeera nze. (Lugaba)

6.    Zaakuyinga Yezu, zaakukaabya taata, n’okomererwa ku musaalaba, n’ofa okubeera nze. (Lugaba)

7.    Bw’otyo ng’onjagadde, nange ka nkusenge,
Mbeere wuwo ggwe mukama wange naawe obe owange (Lugaba)

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password