YEZU OKUKUJJUKIRA

1.    Yezu okukujjukira,
Ly’essanyu ly’emyoyo gyaffe
Naye ekisinga byonna
Kwe kubeera okumpi naawe.
2.    Teri kigambo kya ssanyu
Na kitabo kitereevu,
Teri nnyimba mpomerevu
Awatatendebwa Yezu.

3.    Tewali gwe nnyimbirira
Tewali gwe mpuliriza,
Tewali gwe nzijukira
Asinga Yezu ekisa.

4.    Osaasira ayonoona
Owulira akusaba
Akunoonya tomubulwa
Akusanga wa mukisa.

5.    Nnandibadde nga njogera,
Nnandibadde nga mpandiika,
Sisosbola kunnyonnyola
Yezu omwana wa Katonda.

6.    N’olulimi tirunyumya
N’ennukuta tetegeeza
Ageza yekka y’amanya
Yezu bw’ali omwagalwa.

7.    Yezu beera ssanyu lyaffe,
Nga bw’oliba empeera yaffe,
Mu ggwe wekka tujaguze,
Emirembe n’emirembe.

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password