YEZU OKUKUJJUKIRA By W.F
- Yezu okukujjukira ly’essanyu, ly’emyoyo gyaffe;
Naye ekisinga byonna, kwekubeera okumpi naawe.
- Teri kigambo ky’assanyu, nakitabo kiterevu
Teri nyimba mpomerevu, awatatendebwa Yezu.
- Tiwali gwe nyimbirira, twali gwe mpuliriza;
Tiwali gwe njikujira, asinga Yezu ekisa.
- Osaasira ayonoona, owulira akusaba;
Akunoonya tomubula, akusanga wamukisa.
- Nandibadde nga njogera, nandibadde nga mpadiika
Sisobola kunnyonnyola, Yezu Omwana wa Katonda.
- N’olulimi tirunyumya, n’ennukutta tetegeeza;
Ageza yekka y’amanya, Yezu bwali Om’wagalwa.
- Yezu beera ssanyu lyaffe, nga bwoliba empeera yaffe;
Mu Gwe wekka tujaaguze, emirembe n’emirembe.
0 Comments