Yezu wange azze, mu mwoyo gwange
Ensi wamu n’eggulu mumubbiremu.
- Owange kikuuno, emmeeme yange
Kaakano efuuse tabernakulo!
- Olulimi lwange leero lumyuuse,
Luliko omusaanyi gw’Omulokozi.
- Kaakano mbasiinze bamalayika,
Mukaba Katonda, nzenno mulidde.
- Abatuukirivu munsanyukire,
Omugenyi wange ye Nnyini ggulu.
- Gwe Maria mmange twenkanye leero,
Eyajja mu ndaayo, azze n’omwange.
- Gwe Kabaka wange ozze okundaba,
Ekitiibwa kyange tikitendeka!
- Gwe Katonda wange ng’onjala nnyo!
Obeeranga wange nange mbe wuuwo.