BANNANGE MBABUULIRE, ALLELUIA |
Leaders Chorus 1. Bannange mbabuulire ekitalo Alleluia |
Mbabuulire ebinyuma Alleluia, azuukide, eyali afudde n’awolerera |
2. Yezu Omulungi omwagalwa Alleluia Omulungi azuukidde Alleluia, azuukidde … |
3. Yatuma abatume ng’agamba Alleluia Musomese abantu, Alleluia, azuukidde … |
4. Olw’okutwagala yakwatibwa ebbiina Alleluia Teyadduka amazina Alleluia, azuukidde … |
5. Okumusamba, okumukuba ekitalo Alleluia Yezu omwagalwa Alleluia, azuukidde … |
6. Yetikka guli omuti omuziro Alleluia Omusaalaba amazina Alleluia, azuukidde … |
7. Yafiira ku musaalaba wamma Alleluia Okulokola abantu Alleluia, azuukidde … |
8. Yaziikwa mu ntaana ng’abalala Alleluia Kyokka yazuukira Alleluia, azuukidde … |
9. Abatume n’abalala beebuga Alleluia Nga Yezu azuukidde Alleluia, azuukidde … |