KRISTU AVUDDEYO AMYANSAMYANSA

1.    Eyefuula omuntu n’akka, n’abeera ewaffe ku nsi,
N’attibwa ku lwaffe abantu, leero azuukidde.
Luwangula Kristu omuzira amegguzza (sitaani)
Olwaleero, leero tununuddwa.
Kristu avuddeyo amyansamyansa, ng’ayakayaka Yezu atangalijja
Kristu avuddeyo amyansamyansa, Alleluia
2.    Olwaleero twenyumiriza, anti walumbe asingiddwa
Olwaleero tumukulisa nnyo, Kristu awangudde.

3.    Eggulu n’ensi bisagambiza lwe Yezu Kristu omuwanguzi
Eyafa luli ku musaalaba, wuuno azuukidde.

4.    Madalena akedde n’abalala ku ntaana bazze okuziraga
Babuliddwa anagyawo ejjinja, so Yezu yagenze dda.
5.    “ Bakazi mmwe munoonya ani?” “Tunoonya Yezu eyaziikiddwa”
Taliimu muno anti takyali mufu, Yezu azuukidde.

6.    Mugende mugambe era abatume be nti e Galiraya gyebaba balaga
Bamusangeyo gyeyabesoose anti bweyayogera.

7.    Emirembe kummwe gibeera, nze nzuuno mmwe nno temuntya
Kambalage ebibatu, n’ebigere, anti nzuukidde.

8.    Olwokuba ye okuzuukira nga n’obwaffe bukomye ku nsi
Tuli bagumu tulizuukira….Alleluia.

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password