NTAANA NJEREERE

Ntaana njerere yezu Aliwa? Ntaana njerere yezu Aliwa?// x2
Yezu abuze, talimu, Yezu aluwa, talimu// x2

Bamutadde wa Mukama wange, Bamutadde wa Mukama wange? x2
Yezu abuze nkunoonya, Yezu abuze nkunoonya x2

Nasuze nkunoonya, Oh! Lwaki ombuzeeko? Mukama wange lwaki ombuzeeko?
Nasuze nze nsinda, Oh! Lwaki ombuzeeko, nasuze nze nkaaba, lwaki ombuzeeko?

Tutti
Mukama wange lwaki ombuzeeko? Mukama wange lwaki ombuzeeko?
Lwaki ombuzeeko? Lwaki ombuzeeko?

Solo: Mukaabira ki bakazi battu, Yezu ya’azuukira dda!

Tutti:
Bakututte wa Mukama wange? bakututte wa muganzi wange?

Solo: Mukaabira ki bakazi battu, Yezu gwe batta gyali.

Tutti:
Bakututte wa Mukama wange? bakututte wa mbuulira? Bakututte wa kabiite wange?

//Muleke kutya tunoonya owe Nazareti, Muleke kutya. Tunoonya yezu gwe batta// x 2
Azuukidde Ssebo, Yezu owe Nazareti, azuukidde ssebo, Yezu eyattibwa sso // x2

Muno taliimu, Yezu owe Nazareti, azuukidde Ssebo Mwana owa Katonda
Mulabe ekifo kye, Yezu owe Nazareti mwe yateekebwa ku luli, Mwana owa Katonda

Kale mugende batume mubagambe amawulire amalungi. Mugambe bonna nti Yezu kye yagamba kituufu kyagobye dda.

Bagende bonna bagende Galiraya bamulabe obolungi. Bagende mangu, bagende Galiraya bamusisinkane eyo.

Azuukidde, muno taliimu azuukidde// x2 D.C (Repeat Ntaana njerere up to here)

Solo:
Gwe noonya kabiite wazze wa? Wazze wa ggwe Yezu gwe noonya?!
Ogenze wa gwe batta ogenze wa? Ogenze wa nkunoonya ogenze wa?
Nkedde nnyo nkunaaaze, ogenze wa? Bye ndeese nkusiige mbisse wa?
Abamusse mbabuza yazze wa? Mumundage, mumundage gye mumutadde

BASS: Owange Mariya okabira ki? Owange Mariya onoonya ani? //x2
SOP: Noonya Yezu gwe batta agenze wa? Bamutadde wa nzirage eggumba lye? //x2

Oba ddala omanyiyo yogera. Oba ddala omanyiyo ntwala, ntwala x2

Bass solo: Owange Mariya, Mariya, owange Mariya // x 2
Muyigiriza ndabira wa, ndabira wa Ssebo! Muyigiriza ndabira wa! Nzuukidde.
Muyigiriza ndabira wa, ndabira wa Ssebo! Muyigiriza ndabira wa! Tonkwatako.
Muyigiriza ndabira wa, ndabira wa Ssebo! Muyigiriza ndabira wa! Nze ngenda wa Taata

Muyigiriza ndabira wa, ndabira wa Ssebo! Muyigiriza ndabira wa!

Genda mangu Abatume obagambe; Nninya waggulu eri Kitange era kitammwe mwenna. Nninya waggulu eri Kitammwe era Katonda wammwe.

Tunasisnkana mpola e Galiraya, tunasisnkana totya x 2
Yee, azuukidde omuwanguzi ntalo! Yee, azuukidde omuwanguzi ntalo! x2

Tukwaniriza Yezu luwangula ogguse x 2. Muwanguzi ogguse

Yezu muganzi wange
Ovuddeyo emagombe olumbe olugobye n,amaanyi. Ovuddeyo emagombe olumbe olugobye leero // x2

Alleluia, alleluia, alleluia, alleluia, alleluia, alleluia azuukidde, Omulokozi azuukidde.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *