YEZU LEERO ASINZE

1.    Yezu leero asinze, ffenna tusanyuke n’emeeme ekube ejjebe
Yezu leero asinze.
Asinze sitaani n’olumbe, mu nsi n’eggulu, mu nnaku enkulu, lw’azuukiddemu, lwe lusinga mu ssanyu.
Tumubbiremu, tuyimbe wamu, Alleluia mu nsi n’eggulu.

2.    Olumbe sikyalutya, Yezu yalusinga, Yezu yaluwangula, olumbe sikyalutya.
Kwe nsinziira okuklkiriza
Kye yalanga edda, nti ndizuukira akituusizza
N’avaayo n’ekitiibwa, bwe tutyo ffenna, oluvannyuma edda tulimugoberera.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *