ABAAGALWA MWENNA

Abaagalwa mwenna mujje mwe abantu;
Tugende ew’Omukama tumusinze wamma.
Tumutende, tumwebaze, ffe tumusabe.
Anti essanyu lyaffe, amaanyi n’eddembe
Bituviira mu Mukama, byonna era n’obulamu.
1.    Omukama ye wakutendanga.
Yee, ettendo n’ekitiibwa tubiwenga Katonda.
Ate ani, ani amwenkana?
Anti mu liinya lye byonna bifukamira.
2.    Wa maanyi ye wakutiibwanga.
Yee, amaanyi g’alina oyo ga njawulo wamma
Yekka omu byonna eby’eggulu n’ebyo eby’ensi
Byonna ye abiwanirira.

3.    Tumwebaze Ddunda yatwewa.
Yee, oyo olw’ekisa kye yatuganza abantu,
Ffe luli edda ffena bwe twawaba
Ye nno mu mwana we ffena ye yatiggyayo.

4.    Mu Kristu ye mwe yeweweera
Yee, ffe Kristo Olw’okufa kwe ne tufuuka baganzi
Ebyedda byonna olwo byakoma,
Anti mu mwana we leero ffe mikwano gye!

5.    Amiina ye wakutendwanga
Yee, yekka ow’ekitiibwa, tumutende Katonda.
Ffena ffe abaana ab’engoma,
Taata atwagala ffena alituwanguza.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *