- Baganzi bo Yezu Tuzzze gy’oli, Tukuwoyewoye nga tukusinza
Anti tokyatuyita na baddu, watufuula baganda bo.
- Gwe asobola wekka ayi Yesu Okuliwa omutango ge’ebibi;
n’okutufunira ekisonyiwo, ffenna tugende mu ggulu.
- Mu missa ezisomwa munsi yonna, otuyita nti: mujje gyendi mwenna;
Abalunwa n’abakabiriddwa, nange mbatoowolokose.
- Ku Kalivario o kumusaalaba, mubulumi watusabiranga nnyo;
walaga Yezu nga bw’otwagala, bwe watifiirira ffenna. - Gwe ow’obuyinza ggwe ow’ekisa, akunoonya bulijo akulaba;
Akusaba bulijjo afuna, tumulise emitima. - Wano mu Missa ne mu kommunio, Twegattawamu okuddabiriza;
Katonda Patri eyakutuwa, okutufiirira ffenna. - Ba Kerubimu Baserafimu, na mmwe abatukirivu bo mu ggulu;
Musanyukire Omugenyi wange, anti y;oyo Nnyini ggulu. - Mmange Maria Twenkanye leero, gwe wazaala anti nange gwe ndidde;
Ndiwamukisa okukufaanana, anti nange ndi mwana wo.