HA! NNAMULONDO YO NNUNGI

Ha! Nnamulondo yo nnungi
Ayi Mukama, n’omwaliro kw’etudde gutengeenya.
Nnegomba okubeera awo awali ggwe, nga nsinza.
Bwe ntyo nga ntenda obuyinza bwo.
1.    Tuzze wuwo olwaleero –
Tusinze wamu ffe b’olunda ab’enda emu.
Mu kiggwa kyo Mukama owaffe –
Taata tukkirize. Tutuuke awo ku mwaliro.

2.    Ggwe owaffe –
Ffe abasobya ne tukunyiiza buli lukya ate ne luziba.
Twekembe ensobi tuzikyaye –
Tuyubule, Taata otuuze buto wano – mu missa yo.

3.    Twebaza nnyo by’otuwadde –
Enneema z’otuwa. Tuzisiimye ak’ensusso.
Ka tubikyawe ebibi byaffe ebyo.
Taata tusonyiwe ffe tubikyawe leero ne bulijjo.
4.    Nga tussa kimu – mu Missa yo leero.
Gano agasanyusa – ag’ekitambo kyo ekitubuulirira.
Tusiibe nago mawulire malungi olw’okwagala,
n’okukutenda ggwe Nnamugereka.

5.    Omutenza – ggulu Kawa – migero –
Ffe abali ekimu ne Kristu Yezu, Omwana wo.
Mwoyo wo akke eno gye tuli omukubagiza
owaffe tudde eka nga tuli bumu – ku lw’ekitiibwa kyo.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *