HA! NNAMULONDO YO NNUNGI by Alphonse Ssebunnya

Ekidd.: Ha! Nnamulondo yo nnungi,

                       Ayi Mukama, n’Omwaliiro kw’etudde gutenngeenya,

                       Nneegomba okubeera awo awali ggwe, nga nsinza

                       Bwe ntyo nga ntenda obuyinza bwo.

 

  1. Tuzze wuwo olwaleero – Tusinze wamu ffe b’olunda ab’enda emu.

Mu Kiggwa kyo Mukama owaffe – Taata tukkirize

Tutuuke awo ku mwaa liiro.

 

  1. Ggwe owaffe – Ffe abasobya ne tukunyiiza buli lukya ate ne luziba.

Twekembe ensobi tuzikyawe –

Tuyubule, Taata otuzze buto wano – mu Missa yo.

 

  1. Twebaza nnyo by’otuwadde – Enneema z’otuwa tuzisiimye ak’ensusso –

Ka tubikyawe ebibi byaffe ebyo –

Taata tusonyiwe, ffe tubikyawe leero ne bulijjo.

 

  1. Nga tussa kimu – mu Missa yo leero

Gano Agansanyusa – ag’ekigambo kyo ekitubuulirira.

Tusiibe nago mawulire malungi olw’okwagala, n’okukutenda

ggwe Nnamugereka.

 

  1. Omutenza-ggulu Kawamigero – Ffe abali ekimu ne Kristu Yezu,

Omwana wo. Mwoyo wo akke gye tuli

Omukubagiza owaffe tudde eka nga tuli bumu – ku lw’ekitiibwa kyo,

AMIINA.

 

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *