HA! NNAMULONDO YO NNUNGI(Alphonse Ssebunnya)

Ekidd.: Ha! Nnamulondo yo nnungi,
Ayi Mukama, n’Omwaliiro kw’etudde gutenngeenya,
Nneegomba okubeera awo awali ggwe, nga nsinza
Bwe ntyo nga ntenda obuyinza bwo.

1.Tuzze wuwo olwaleero-Tusinze wamu ffe b’olunda ab’enda emu.
Mu Kiggwa kyo Mukama owaffe – Taata tukkirize
Tutuuke awo ku mwaliiro.

2.Ggwe owaffe-Ffe abasobya ne tukunyiiza buli lukya ate ne luziba.
Twekembe ensobi tuzikyawe –
Tuyubule, Taata otuzze buto wano – mu Missa yo.

3.Twebaza nnyo by’otuwadde – Enneema z’otuwa tuzisiimye ak’ensusso –
Ka tubikyawe ebibi byaffe ebyo –
Taata tusonyiwe, ffe tubikyawe leero ne bulijjo.

4. Nga tussa kimu – mu Missa yo leero
Gano Agansanyusa – ag’ekigambo kyo ekitubuulirira.
Tusiibe nago mawulire malungi olw’okwagala, n’okukutenda
ggwe Nnamugereka.

5. Omutenza-ggulu Kawamigero – Ffe abali ekimu ne Kristu Yezu,
Omwana wo. Mwoyo wo akke gye tuli
Omukubagiza owaffe tudde eka nga tuli bumu-ku lw’ekitiibwa kyo,
AMIINA.
DOWNLOAD LINK:

HA NNAMULONDO YO

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *