KA TUSANYUKE FFENNA

Ka tusanyukke ffena, ka tujaguze ffenna
Abaana ba Katonda abebonanye wano mu kiggwa kye
Tuli baluganda ba nda emu, tuli baluganda Kitaffe y’omu.
Ekitiibwa kya Kitaffe bwe busika bwaffe.
1.    Mulabe Katonda bw’atwagala abantu,
Twali tuwabye ffena,
N’atutumira Omwana omuggulanda atulokole.
Tweyanzizza Kifaffe tufuuse baggya,
Tweyanzizza Taata atwagala nnyo,
Tweyanzizza Kitaffe tufuuse baggya,
Tuli baana bo(x2) Taata abaganzi.

2.    Mulabe Katonda bw’atwagala abantu,
Twali tumujeemedde
N’atuyiwako amazzi n’atuzaala mu Batismu.
Tweyanzizza……………

3.    Mulabe Katonda bw’atwagala abantu,
Yaggya mu kissa kye ekyo
N’atuyingiza mu eryo eggwanga lye eppya eritukuvu.
Tweyanzizza……………

4.    Mulabe Katonda bw’atwagala abantu,
twajjuzibwa ne Mwoyo
Tuli mu maka ga Katonda ku nsi amatukuvu.
Tweyanzizza……………

Comments

0 Comments

Login

Welcome! Login in to your account

Remember me Lost your password?

Lost Password