KATUKUGULUMIZE

1.    Tuyingire ffe n’essanyu mu kiggwa kye kino,
Tuwereze ekitambiro ekya Yezu Kristu.
Katukugulumize, tumuyimbire,
Katwetabe n’abeggulu ffena alleluia. x2
2.    Tuwulire ekigambo kye mu kiggwa kye kino,
Tumusabe bye twagala, byonna anabituwa.

3.    Katwambuke ku lusozi lwe olutukuvu,
Tuwanike emikono mu ttendo ettukuvu.

4.    Tutegeke emitima ffene abanunule,
Ayingire mu mitima oyo omulokozi.

5.    Ffe tuwere okukola byonna ebitukuvu,
Tumusabe abantu be amaanyi amaggya.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *