NDI MUKRISTU

1.    Nkakasa ndi mwana wa Katonda,
Ggwe sitaani wenna nkwegaana,
Era ate ndi mwana wa Maria,
Bullijo n’emirembe gyonna.
Ndi mukristu, ndi mukristu,
Nzikiriza leero ne bulijjo;
Nzikiriza leero ne bulijjo.

2.    Nkusinza ggwe oli mutonzi wange,
Ggwe eyatonda ensi n’eggulu,
Mkusinza ggwe Patri, ggwe Mwana we,
Naawe Mwoyo Mutukirivu.
3.    Twenna twali ffugge lya sitaani,
Mwana n’ajja natulokola,
N’aliwa omutango gw’abonoonyi,
Ng’akkiriza okubafiirira.
4.    Njagala n’ebiragiro byonna,
Katonda bye yatuteekera;
Mbikwata n’omwoyo omusanyufu,
Mbeere kwe kutuuka mu ggulu.
5.    Ndeseeyo okwesiga ebintu by’ensi,
Kaakano sikyafa ku lumbe;
Obanga Yezu ye mulamuzi,
Maria, Nnyina we ye mmange.

Comments

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *